Buli kitonde ku nsi
Kivamu eddoboozi kyogera
Enjogera y'ebitonde bino
Bisinza Mukam(a) omutonzi
Buli olukya
Era ne luziba bisuut(a) omutonzi
mu maloboozi amasenekerevu
Ne biyimba nti osanidde
Osanidde (era)
Ogulumizibwe Mukama
Wayogera ne wab(a) eggulu n'ensi
Erinnya lyo teryenkanika
Osanidde (era)
Ogulumizibwe Mukama
Wayogera bube (e)misana ob(a) ekiro
Kigambo tolin(a) akwenkana
Bwe ntunulir(a) ebire mu bbanga
Mu kasirise nga bitenda
Enyonyi zibuuka ziyimba
Mu maloboozi amawomerevu
Buli lunaku
Enjuba n'omwezi bitenda
Mu doboozi lyaby(o) eryegongyebwa
Ne biyimba nti osanidde
Osanidde (era)
Ogulumizibwe Mukama
Wayogera ne wab(a) eggulu n'ensi
Erinnya lyo teryenkanika
Osanidde (era)
Ogulumizibwe Mukama
Wayogera bube (e)misana ob(a) ekiro
Kigambo tolin(a) akwenkana
Buli kitonde kye yatonda
Kiraga maanyi ge Mukama oyo
Emigga n'enyanja biyimba
Ng'en(o) ebyenyanja bitenda
Buli lunaku
Tusuuta erinnya lye nti osanidde
Kye tuva tumuyimus(a) eyo mu mawanga
Erinnya lye teryenkanika
Osanidde (era)
Ogulumizibwe Mukama
Wayogera ne wab(a) eggulu n'ensi
Erinnya lyo teryenkanika
Osanidde (era)
Ogulumizibwe Mukama
Wayogera bube (e)misana ob(a) ekiro
Kigambo tolin(a) akwenkana
Wayogera ne wab(a) eggulu n'ensi(era)
Erinnya lyo teryenkanika
Wayogera bube (e)misana ob(a) ekiro
Kigambo tolin(a) akwenkana
📌 By commenting, you agree to follow these rules. Let’s keep HowweBiz a safe and vibrant place for music lovers!