Intro:
Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka,
Naye, balikaabirira batya gwe batannakkiriza?
Sebema Ug.
Verse: 1
Nga buli kimu kyesibye, amagezi gabuze,
Yesu ge mawulire ge ndeese
Yatugamba mulete ensonga zammwe ennene,
Abakooye n'abazitoowereddwa mujje tusabe,
Tukkirize ne mukama akole.
Tusaasire Yesu, n'omusaayi gw'otunaaze
Buli omu mu ngeri ye mulwadde,
Naye kyawandiikibwa aliba mulamu akkiriza ggwe,
Kati nsabira abalwadde bawone, abazibe balabe, abakozi bafune,
Mu linnya lya Yesu obwavu bukome
Mpita amagezi mu mitwe,
Divine connection zijje,
Business ezikonye zisituke
Emmaali tufune, ba customer bagigule,
Tukulakulaneko, naffe tujulire,
G'enenye amawanga galokoke,
Mu linnya lya Yesu Kristo nsabye
Amiina
Chorus: x2
Ndeese mawulire,
Gano gasumulula mbabuulire,
Mwenna musaana mugawulire,
Mugende n'abalala mubabuulire.
Verse 2
Essaala nga tolokose, eba pain killer
Kwata eddagala ettuufu olimire
Yesu yajja obulokozi tufune,
Nga ge mazzi gonywa ennyonta netakuluma nate,
Yatugamba
Bwe mu beera mu nze, n'ebigambo byange mu mmwe, musabe kyona kye mwagala kikolebwe.
Sooka olokoke,
Ojje mu bwakabaka bwe, mutabagane
Omusabe akuwe,
Ate musango eri abo abatalokose
Naye tebataliiko musango abali mu Yesu,
Dduka geyena olokoke kwata mu kifuba oyatule nti,
Ayi Yesu nzikirizza n'omutima gwange,
Era njatula n'akamwa kange nti, ndokose
Sangula amannya gange mu kitabo ky'abafu,
Ogawandiike mu kitabo ky'abalamu
Nnungamya Yesu, okuva kati ndokose.
Chorus x2
Verse 3;
Mu musaayi gwa Yesu abalokose amanya gaffe gatukuzibwe,
Ku radar z'emizimu n'obuzaliranwa tubule,
Endwadde n'obwavu bwa sitani bitute,
Nsindika omuliro mu tent ye
Obusaale bw'omuliro tubwolekeza nkambi ye,
Njokya endagaano na buli nkwaaso zikutuke,
Bi kawuula ne bi kalondoozi bikute,
Tutegulula emitego sitaani gyateze,
Tuziika, tujjuza buli magombe g'abadde asimye,
Enjegere zite, ebisenge bigwe,
Mu linnya lya Yesu abawambe mufulume,
Obwavu bufuluke, ebyenfuna bibbulukuke,
Amagenda gaffe g'asumululwe
Yesu nabagamba mu musumulule,
Mumuleke agende,
Sister/brother kati oli wa ddembe,
Golokoka n'abalala obabuulire,
Yesu Kristo bamuwulire,
Mu yye bawumulire.
Chorus x2
Outro:
Funa e kanisa entuufu osomesebwe, mu ggulu bibuuzo
Funa e kanisa entuufu ojjanjabwe,
E kanisa ddwaaliro,
Ekanisa restaurant, kebera kye bafumba wa?
Jangu olye, owone, ate oyige.
📌 By commenting, you agree to follow these rules. Let’s keep HowweBiz a safe and vibrant place for music lovers!