Mumpowe - Eddy kenzo

Mumpowe

4.3 of 5 stars
414 votes
Share this Song
Download the Howwe Music App
Howwe App

Mumpowe Lyrics

[Verse 1]
Ntera nga nensoma amawulire
nanditegedde ntya nti eno ensi yawunga na dda
Ebinjogerwako mbiwulira
ne nebuza nti muffa nga ki baganda bange?
Kansoke mbabulire ekyanzijja mukyalo
kye waffe nenja nsenga mukibuga eno
Ensonga eyandeeta enkulu muzona
Kwekutereza obulamu bwange
Wabula newunya nnyo nnyo nga mutudde
Nemunteesako nga musaakanya
Mbu esente zakola ki azonona
Aziwamu bakazi nakunywa mwenge
Yeno muffa ki no ba dear
Obulwadde obubaluma ndaba nuggu
Nzeno nga nyina ebirooto byange
Byenajja ntukirize nzire mukyalo
Kati ekibuuzo kyenina mikwano jange
Ki kyesikoze kyemwantuma?
Ekyo ekibogeza ebigambo gambo…
nemunderesa gyemuyita
Nemujja munywerako sigala munwe ku munwe
mayirunji njaye n’embizzi okwo

[Chorus]
Kati no mundeke (nze nazze mukusanyuka)
Aahh nze mumpowe (temunjogeza binji nnyo)
Abange mundeke (nazalibwa kudigida)
Aahh nze mundeke (n’obulamu bumpi nnyo)
Mbagambye mumpowe (nze nazze mukusanyuka)
Eeh nze mundeke (temunjogeza binji nnyo)
Abange mumpowe (nazalibwa kudigida)
Aahh nze mundeke (n’obulamu bumpi nnyo)

[Verse 2]
Nze nobusungu bunuma ebigambo
mujja mwogera mwe muleta nentalo wano
Muwuliriza buli kamu temusengejja
mbewuunya nnyo ensanji zino
Ebyo ebiboozi bya Facebook, TikTok mutwaale sagala sagaliko
Mbu oyo Kenzo tawasa omutima bamenya yasigaza bibajjo bajjo
Oba mubijawa ebiboozi byemunyumya
ebitanyumamu wadde yadde
Kyova olaba nemumaddini obutamanya buli eyo
bubonyabonya omufirika
Political nga munyumya banji babula emirembe gyibula temuyiga
Abantu abandinyumiza eby’obwegasi
muda mu folofoto mbu omwana wani
Tunayamba tutya eggwanga erijja
ng’enjiri tutambuza yakweyagaliza
Tuli kubutamanya no tubunya ensi
ng’omweru ali muntebbe akajudde
Anti akwanga kasira n’okuba muganda wo
kyoka gwe nomuwa Golo bwatyo ensimbi nafuna
Obwavu bwebuluma ye bwatyo bwakola ffe emabega gyetuda
Kuuma emwanyi mw’ofuna ensimbi ey’okulya
kuuma abaana bo onayaza ekika
Sente munoonye obulamu bunyume
Nze nsaba mumpowe kuba ndi birala

[Chorus]
Kati no mundeke (nze nazze mukusanyuka)
Aahh nze mumpowe (temunjogeza binji nnyo)
Abange mundeke (nazalibwa kudigida)
Aahh nze mundeke (n’obulamu bumpi nnyo)
Mbagambye mumpowe (nze nazze mukusanyuka)
Eeh nze mundeke (temunjogeza binji nnyo)
Abange mumpowe (nazalibwa kudigida)
Aahh nze mundeke (n’obulamu bumpi nnyo)

[Verse 3]
Obudde bwagwawo eno ensi edduka nnyo
Leka wano nenvawo ngende nkole ebirala
Ntumira abekolera ate nga mweyagala nnyo
Ensi eno bweba tebaguza efudde
Mukwano obanga kibuuka town egonde
Bw’onaloba loba ozeyo mukyalo
bwentyo mbadde musuuza muganda wamwe
leka ntyo nenja nzirayo ku lubimbi lwange

[Outro]
Eeh mwattu kangende (ogenda nga odda)
Kansubire muyizze (ogenda nga odda)
Eeh kangende nfumbe (ogenda nga odda)
Eeh bwebinajja ndeete (ogenda nga odda)
Kasita David jaali (ogenda nga odda)
Sso nga ne Stein jaali (ogenda nga odda)
Eeh mwattu kangende (ogenda nga odda)
Eeh kangende nfumbe (ogenda nga odda)
Musuuza baaba
Wewawo wewawo

Source: musiclyfer

Kagwirawo