Musawo - Don Victor

Musawo

0.0 of 5 stars
0 votes
Download the Howwe Music App
Howwe App

Share this Song

Musawo Lyrics

Kyaterekera omunaku, mukama tekivunda. Nze eyali tasuubira ntinno ndilutuukako olunaku nga ntudde mu kidaala. Bangi banumba, bwe nakufuna nga bagamba tosaana. Oli kafo kali akalungi kenwanira okumala obulamu bwange obwokunsi

Chorus: Kyenva nkuyita na musawo, anzijanjaba omutima.

Kabakole batya nze naawe, tewaliba alitwawukanya mukwano.

Leka nkuteekeko nakaweta. mu maaso gabakulu ngolayira. Nti oliba wamu nange. Until the end

Mazima wajja nga kirooto, mu bulamu bwange kati byafuuka byaddala. Omwana womusheshe namusisinkana ekyali ekirooto kyafuuka. Obadde wamu nange, mu ssanyu ne mubiseera ebizibu. Oli kamuli ka Rosa akasikiliza ziri enjuki okukagwako

           Chorus....

Silikulekawo, nebwolikaddiwa nze honey ndibaawo. Nsaba kimu guma omutima. Byenkugamba tobiwa matu. Guno omukwano tegulikoma. Njagala tulumye bali abatusooka. Oli kakooti kenyambala wamponya obulamu bwokusula ngomuyeekera

Chorus...*2

Top Songs

MSport