Abilaba - Nassuna Meble

Abilaba

5.0 of 5 stars
1 votes
Download the Howwe Music App
Howwe App

Share this Song

Abilaba Lyrics

Intro

Abilaba, byetukola abilaba banange

Abilaba, twenenye era tukyuuse

Verse 1

Kulokoka kisa tegaba magezi go

Mukisa ogutatugwaana ogutuweebwa okutabagana ne Mukama

Ebibi bitugibwaako tufuuka kitonde era kijja

Netuba batukuvu era netufuliibwa okuba abaana ba Mukama

Oyo atulokola olwekisa mutukuvu 

Era abikola ebyo nga alina esuubi ffe omufanananga

Okuleka ekibi n'obulamu buli obwedda tube batukuvu nga ye eyatuyita bwaali omutukuvu Katonda

Kale tumunakuwaza nnyo nnyo bwetusigala mukibi

Tumufuula namulimba nti talokola

Chorus

Abilaba, byetukola abilaba banange

Abilaba, twenenye era tukyuuse

Abilaba, byetukola abilaba Oyo Mukama

Abilaba, tukyuuse amakubo gaffe

Verse 2

Alaba omutima gwo nebyokola munkukutu

Ebyo by'oyingira empya ze n'osinza nga ate wasuze mubukaba

Bukumpanya bufere tosasula mabanja go

Ensi ekukaaba wekwese mubulokozi naye nga oli musege

Buli lwebakunenya n'ojuliza bwebasala emisango

Mbu bwewalokoka wakimala omwoyo gwo muceilinge

Eeeh Ekisa kinno mweweyagalira kankuubuse eeeeeh

Kituyamba kwenenya sikusigala nga twonoona

Era olunaku lujja ng'ovudde mumubiri

Lwolisalirwa omusango bwotakyuuse kwenenye

Chorus

Abilaba, byetukola abilaba banange

Abilaba, twenenye era tukyuuse

Abilaba, byetukola abilaba Oyo Mukama

Abilaba, tukyuuse amakubo gaffe

Verse 3

Kati manya ekibi kitwawula ne Katonda

Era bw'ogaana okukyuuka owagala ekitala ekiri kufumita

Tewewolereza mbu owangulwa okukemebwa

Teri kukemebwa okujja jetuli okutali kwabantu kuwangula

Beera mwesigwa lwaana n'ekibi kuba okubuguma nga tobuguma ali kusesema

Yiga okusaba mulopere ebikulemye mugwe okuwangula welwaneko

Ekisa wekiri okutuyinzisanga

Chorus

Abilaba, byetukola abilaba banange

Abilaba, twenenye era tukyuuse

Abilaba, byetukola abilaba Oyo Mukama

Abilaba, tukyuuse amakubo gaffe

Abilaba, byetukola abilaba banange

Abilaba, twenenye era tukyuuse

Abilaba, byetukola abilaba Oyo Mukama

Abilaba, tukyuuse amakubo gaffe

Abilaba, byetukola abilaba banange

Abilaba, twenenye era tukyuuse

Abilaba, byetukola abilaba Oyo Mukama

Abilaba, tukyuuse amakubo gaffe

Top Songs

MSport