Wanjuza - Emmason walker

Wanjuza

5.0 of 5 stars
14 votes
Share this Song
Download the Howwe Music App
Howwe App

Wanjuza Lyrics

Intro

Emmason Walker Engines, Man Pollo per the beat again. Mp beats avenue.

Verse one

Eno empewo ekunta nkizude bingi byetwaala. Nakasana akokya, mwattu binji byekookya. Buno obudde obuziba sitani binji byaleeta. Ebirooto ebitiisa, nga nzijukira onkyawa. Kwaali kwazirana, biwoobe byabutikira. Nga ndaba bakuntwaalako. Mazima nga ondekawo. Wanimba bwewangamba nti bulikya nga tuli babiri nga tuli mulubiri bwakya newe kyanga nogenda tebyatukirira. Gwe oli bulunji oli mulinji abakwagala olina banji abensimbi. Kati olwo nze omunkuseere waabwe, wankozesa ensobi!

Chorus

Wanjuza nga kipapula, wankanyuga nga kiyinja. Wanzija ku namulondo, watikira omulala.

Wanjera nga bikoola, wanjiwayo nga biveera. Wangoba wenali ntudde, ku mwanjo nonsendera emabega.

Verse two

Wakiri ngenda e Nalufenya, kululwo nsibirwa e Kitalya. Wakiri mpanikibwa ku kalabba, nga sitadde love yo, eyah!

Ofananye ekimuli ekyamera mumagwa, ekimuli. Ontadde ku sigiri, ondabye nga kasooli. Twesange mukimwaanyi, jukira ebyedda mukimwaanyi. Ngo'lwo tukyaali bato, omukwaano gwaffe ogwo! Namukisa eyakuwangula, yankwaata mubbwa. Yansubya akakisa, yanzibako omukisa!

Chorus

Wanjuza nga kipapula, wankanyuga nga kiyinja. Wanzija ku namulondo, watikira omulala.

Wanjera nga bikoola, wanjiwayo nga biveera. Wangoba wenali ntudde, ku mwanjo nonsendera emabega.

Verse three

Lwendigenda ezirakumwa ojjakulaba enjega, akwagala nga nvudewo. Nga nzikirira nsanawo. Tonkabiranga, nga ngenze ekaganga, yeraba nga okaaba ki? Nze ekizibu nvudewo.

Wanimbira kyi nti onjagala? Nga buli Kade ompaana, nebyensitakoze nga osiima. Nelwensikuyise nga ojja! Gwe oli bulunji oli mulinji abakwagala olina banji abensimbi. Kati olwo nze omunkuseere waabwe, wankozesa ensobi!

Chorus

Wanjuza nga kipapula, wankanyuga nga kiyinja. Wanzija ku namulondo, watikira omulala. Wanjera nga bikoola, wanjiwayo nga biveera. Wangoba wenali ntudde, ku mwanjo nonsendera emabega.

MSport