64/100
Owomukwano - King Saha

Owomukwano

4.5 of 5 stars
409 votes
Lotto
Share this Song
Download the Howwe Music App
Howwe App

Owomukwano Lyrics

VERSE ONE

Ow'omukwano wankuba, wankuba nze siraba ngayo akw'enkana.

N'ewange gyensula njagala kuvaayo nzije eyo gy'osula.

Walaayi wanzita ne mmere yagaana e mmere n'ewola.

Appetite yambula nga njagala nkusange omwagalwa.

Lwe wasiibula, kw'olwo walaayi sseebaka. Maama

Omutima gulama, yanguwa ogukwateko walaayi guluma.

Omutima guyokya, guyiire ku mazzi guwole maama guyokya. Walaayi,

Walaayi biruma, biruma nga simanyi nze kyenkola. (Bboyi)

CHORUS

Mukwano gwe ab'anjagala, gwe aba anjagala

Nze ndi wuwo nzenna, gwe aba anjagala.

Ebirungi gwe ab'abimpa, gwe aba abimpa

Bye nnina bibyo byonna, gwe aba anjagala

Mukwano gwe aba anjagala, gwe aba anjagala

Bye nnina bibyo byonna, gwe aba anjagala

Nz'ebirungi gwe aba abimpa, gwe ab'apimpa

Nze njagala gwe wekka gwe ab'anjagala.

VERSE TWO

Olumu gwe n'obula, nenkuba e ssimu, e ssimu yo gwe n'evuga. maama,

Mukwano wanzita, nga simanyi kikusumbuwa. 

Era nze nalayira, nalayira nti nembeera naawe nnyabula

Emyaka jiyise, ekiseera kiyise mukwano gwe ansumbuwa.

Eno laavu n'eruma, n'enkunoonya gy'oli yonna maama n'obula.

Emikwano nentuma n'ejikugamba ate nennyamba maama(....)

Mukwano yanguwa, yanguwa omanye mukwano biruma

Gwe bw'obeera gy'osula manya nti nange gy'ensula ndi eno biruma.

Walaayi biruma, sala amagezi omponye mukwano biruma.

Ndoota ndi naawe, nga ndi naawe, tuula bboyi

CHORUS

Mukwano gwe ab'anjagala, gwe aba anjagala

Nze ndi wuwo nzenna, gwe aba anjagala.

Ebirungi gwe ab'abimpa, gwe aba abimpa

Bye nnina bibyo byonna, gwe aba anjagala

Mukwano gwe aba anjagala, gwe aba anjagala

Bye nnina bibyo byonna, gwe aba anjagala

Nz'ebirungi gwe aba abimpa, gwe ab'apimpa

Nze njagala gwe wekka gwe ab'anjagala

OUTRO

Ow'omukwano yanguwa, yanguwa dear ewaka wagenda kuntama.

Mukwano yanguwa sikyafuna tulo, wagenda ku ntama.

Oh oh oh oh oh ah.

Lotto
Lotto
MSport